Engeri y'okutunda bitcoin ne Blink?
Last updated
Last updated
Copyright Β© 2024 BBW, S.A. de C.V.
Ggulawo app ya Blink onyige ku kabonero akalaga graph yβemiwendo waggulu ku kkono
Koona ku Gula ate otunde bitcoin
wansi ku lutimbe
Londa ensi akawunti yo mu bbanka gyβeri era onyige ku Tunda Bitcoin
Yingiza ssente z'ogenda okutunda mu USD, jjuzaamu ebikwata ku bbanka yo w'ogenda okufuna ssente n'onyiga ku Ekiddirira
Jjuza ebikukwatako nga bikwatagana n'ebikwata ku akawunti yo mu bbanka, ssaamu email gy'osobola okutuukirira n'onyiga ku Ekiddirira
Kakasa ebikwata ku ndagiriro ebirimu amannya go ne nnamba ya akawunti ya bbanka (ebikyusiddwa wano) era onyige ku Kakasa
Londa oba oyagala okusasula okuva ku bbalansi yo eya BTC oba USD (Stablesats) era onyige Ekiddirira
okusasula
Ekiragiro kijja kukolebwako mu ngeri ya otomatiki, naye kiyinza okutwala wakati wβessaawa 1 nβolunaku 1 ssente okutuuka ku akawunti yo mu bbanka. Nkusaba olondoole endagiriro yo eya email okulaba ebipya era otuukirire support@blink.sv bwβoba ββolina ekikweraliikiriza.